Mw. Mulindwa,


Mr. Adhola wrote that 8th October 1962 is not known in Uganda's history other that being the eve of Uganda's independence. Has he forgotten that Buganda is part of Uganda? Any way, translate the first paragraph ( or the whole article) for Him. He's distoting Buganda's history for his own known agenda.

--------------------------------------------------------------------->
Welcome To Bukedde online: Uganda's leading vernacular daily

           Search:
                  Advanced Search in the Archive




Buganda ekuze ameefuga ng’enoonya okuzzaawo ettutumu lyayo


OLWALEERO Buganda lw'ejaguza emyaka 40 bukya eweebwa obwetwaze obw'omunda
nga October 8, 1962.
EMIKOLO gya Buganda egy'okukuza ameefuga gya kubeera Kooki ku mbuga y'Omulangira Apollo Sansa era nga lw'asuubirwa okutuuzibwa ku Bwakamuswaga.
ABAZUNGU bwe bajja wano beewuunya nnyo Buganda olw'okuba n'obufuzi ng'obw'ewaabwe omuli Katikkiro abaami abemiruka, abamagombolola n'abamasaza era ndowooza eyo y'ensonga lwaki mu Buganda mwe baasinziira okusaasaanira mu bitundu ebirala ebya Uganda.
BUGANDA mu kiseera ekyo era lyali ggwanga ggagga ng'abantu beerimira emmere gye balya ate n'oluvannyuma bwe baalima emmwanyi nga ze batunda ne bafuna ssente ne bazimba ennyumba ez'amaabaati nga mu bitundu bya Uganda ebirala abantu bakyasula mu mayumba ga ssubi.
EBY'OKUSOMA bwe byajja Buganda era yakwata ekifo kya ku mwanjo olw'okuba abantu baalina ensimbi ezitwala abaana ku masomero era abayigirize abaasooka abasinga baali Baganda.
EBITUNDU ebirala mu biseera ebyo nga byegomba Buganda era nga bw'oba oyagala ekyokulabirako ky'ebyenkulaakulana ojja mu Buganda.
KYOKKA kati embeera ebitundu bya Buganda ebisinga gye birimu yeeraliikiriza. Buganda eyali ekyokulabirako olw'okukulaakulana kati efuuse kyakulabirako eky'obwavu obuluma abantu mu Uganda.
AMATOOKE agaayamba ennyo Buganda okufufuggaza ebitundu ebirala olw'okubanga gaali tegeetaaga nnyo budde kulima ng'akalo oba emmere eyalibwanga mu bitundu ebirala kati gafumwa bufumwa mu Buganda era nga gaggyibwa mu bitundu birala.
EMMWANYI Abaganda mwe baggyanga ssente okuweerera abaana n'okwebezaawo nazo kati zigudde nnyo akatale. Kino kitegeeza nti Buganda kati terina kintu kiryawo ky'egamba nti ky'etunda.
ABAANA Abaganda tebakyasoma olw'obwavu obufung'amye mu byalo era abavubuka Abaganda kye bamanyiddwako ennyo kye basobola okukola kati mpozzi bwe bubbi kubanga abasinga tebasomye ate tebaagala kukola.
N'OLWEKYO Buganda ng'ekuza emyaka 40 egy'obwetwaze abakulembeze baayo balina okunoonyeza abantu baabwe eky'okukola ekivaamu ensimbi n'okubakubiriza okukola ennyo olwo Buganda lw'eneesobola okuddamu okufuna ettutumu lye yalinanga edda.


Published on: Tuesday, 8th October, 2002

Email this article to a friend.






© Copyright The New Vision, 2000-2002. All rights reserved.





_________________________________________________________________
Add photos to your e-mail with MSN 8. Get 2 months FREE*. http://join.msn.com/?page=features/featuredemail




--------------------------------------------
This service is hosted on the Infocom network
http://www.infocom.co.ug

Reply via email to