Katikkiro Joseph Ssemwogerere has entrusted Buganda MPs with the challenge of firmly debating issues that those who elected them demand to be amended in the constitution.

The challenge was given yesterday in secret discussions at Bulange which lasted more than six hours and which reflected on the views that Buganda plans to present to the Legal Committee of Lawyer Friedrick Ssempebwa on 28th Jan. 2003. 

Katikkiro presented five points on which he impressed upon the MPs to fight for when the time comes for parliament to debate proposals on constitutional amendments.  

The five points include the Federo issue, the return of 9000sq miles of land to Buganda, Kampala to be counted as a part of Buganda, rescinding of the land law  that gives squatters right of occupation or settlement and that traditional leaders be afforded official invitations to all recognised national functions.  

After presentation of the said points by the Katikkiro, the leader of the participants who is also the Minister of incharge of Luwero Recovery, Mr. Tim Lwanga went on to emphasize that the standing policy states that all Buganda districts are constitutionally regarded as being under one entity within the pillars of a federal system that Buganda is striving for.

Once this was over, members of the press were kept out of proceedings that followed on the basis of them being described as confidential.

The Member of Parliament for Rubaga South, Mr. John Ken Lukyamuzi later told journalists that he was not convinced by some of his fellow MPs from Buganda especially Ministers for their failure to attend the marathon discussions as the task equally concerns them.

To this effect, he pointed out Prime Minister, Apollo Nsibambi, the parliamentary speaker, Edward Ssekandi plus Ministers, Gerald Ssendaula, Ruth Nankabirwa, Syda Bumba, Bidandi Ssali, Edward Babu, Kidhu Makubuya and Kisamba Mugerwa.

----------------------------------------------------------------------------------------------   

Bamemba ba palamenti Abaganda abamu bati-dde okulwanirira Federo

Katikkiro n’abamu ku babaka ba palamenti mu Bulange.

Bya Robert Masengere

KATIKKIRO Joseph Ssemwogerere asibiridde ababaka ba palamenti abava mu Buganda entanda bateese na buvumu kw’ebyo abantu abaabalonda bye bettanira bikyusibwe mu ssemateeka.

Entanda yagibasibiridde mu Bulange eggulo mu kafubo ak’ekyama akaakulungudde essaawa ezaasobye mu mukaaga nga bateesa ku birowoozo Buganda by’eteekateeka okuwaayo mu kakiiko ka munnamateeka Friedrick Ssempebwa nga Jan 28 omwaka guno.

Katikkiro yabanjulidde ensonga ttaano n’abakuutira bazirwanirire ng’essaawa ey’okukyusa ssemateeka etuuse mu lukiiko lwabwe.

Ensonga zino mwe muli eya Federo, emayiro z’ettaka 9000
okuddizibwa Buganda, Kampala okubalibwa ng’ekitundu kya Buganda, etteeka ly’ettaka eriwa omusenze obwannanyini ku ttaka likyusibwe wamu n’abakulembeze ab’ennono okuweebwa enkizo ku mikolo gy’eggwanga emitongole.

Katikkiro olwamaze okwanjulira ababaka ensonga zino, eyakulembeddemu banne ng’era ye minisita avunanyizibwa ku nsonga z’akanyigo k’e Luweero Mw. Tim Lwanga n’akikkaatiriza nti enkola egamba nti disitulikiti za Buganda zibalibwa ng’ezeegasse awamu mu konsitityusoni eggumiza omusingi ogwa Federo Buganda gwe yettanira.

Bino olwawedde abaamawulire ne baggalirwa wabweru nti kuba okuteesa kwabadde kwa kyama. Omubaka wa Lubaga South John Ken Lukyamuzi oluvannyuma yategaezezza abaamawulire nti teyabadde mumativu n’abamu ku babaka banne mu palamenti naddala baminisita okwesulubabba akafubo kano nti kuba omulamwa gubakwatako kyenkanyi.

Yanokoddeyo Katikkiro Apollo Nsibambi, Sipiika Edward Ssekandi, ne baminisita Gerald Ssendaula, Ruth Nankabirwa, Syda Bumba, Bidandi Ssali, Edward Babu, Kidhu Makubuya ne Kisamba Mugerwa.

Published on: Friday, 17th January, 2003

Email this article to a friend.



Do you Yahoo!?
Yahoo! Mail Plus - Powerful. Affordable. Sign up now

Reply via email to