Ababaka baagala kumanya ekyakwogeza ebigambo ebyo — Sekandi

Bya Ahmed Mukiibi

OMUMYUKA wa Pulezidenti Dr. Specioza Wandira Kazibwe baamutuuzizza mu bigambo nga bamubuuza ekimuvumisa Federo kyokka n’agamba nti mu Kampala gye yayogeredde si wa Buganda n’olwekyo bamwesonyiwe.

“..... Kiki ddala ekikuvumisa Federo nga mmwe muleese Ccaata yammwe eya Busoga ffenna ne tubaaniriza bulungi...”
Abdulatif Sebaggala
(Kawempe)
South) bwe yabuuzizza Dr. Kazibwe mu lutuula lw’eggulo.

Dr. Kazibwe teyalinze Sebaggala kumalayo n’amwambalira, “Nze nnali ku lunaku lw’Abasoga olwategekebwa mu Kampala atali wa Buganda era ssebo Sipiika si kyabwenkanya omubaka okunnumba ku bye nnayogerera mu Kampala kubanga si wa Buganda,” bwe yagambye.

Kyokka Sipiika Edward Sekandi yamuwabudde, “gye wabyogerera si y’ensonga, oba wali Yumbe oba wa, omubaka Sebaggala ky’abuuza bye bigambo bye wayogera sso ssi gye wabyogerera era nze mbadde nkunsuubira kututegeeza nti ebigambo ddala wabyogera oba nti tobyogerangako...”.

Bino biddiridde Dr. Kazibwe okusinziira ku mukolo gw’olunaku lwa Busoga ogwategekebwa ku Grand Imperial Hotel mu Kampala n’avumirira Federo nti si nsonga nkulu kuba waliwo ebintu ebikulu bingi ebisaanye okulowoozebwako mu kifo kya Federo.

Dr. Kazibwe, abamu ku babaka gwe baang’odde teyazzeemu kusituka kubaako ky’atangaaza nga kino kyaddiriddwa Sipiika okulung’amya olukiiko nga ensonga eyo bw’erina okuva mu ddiiro.

Okusooka Dr. Kazibwe yayanjulidde Palamenti Ccaata ya Busoga Sipiika n’ategeeza nti Disitulikiti za Busoga zaagikoze nga ziyita mu katundu 178 aka Konsitityusoni.

Published on: Friday, 21st February, 2003

http://www.bukedde.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=2&newsCategoryId=60&newsId=117309



Add photos to your e-mail with MSN 8. Get 2 months FREE*.

Reply via email to