Mulindwa, Lisa Toro, Bwambuga etc,



Buganda\ Baganda of today is\are different from the one you know. Just as I told you that NRM federo proposal that "grants" it to Buganda only, AND without tax powers wont be welcome in Buganda, please read the reaction from Baganda and Mengo. Your so called "deal with Mengo" is total rubish and your decampaigns against federo will fail because its full of envy and lack substance. I wish Mulindwa can translate to avoid "biaseness"


J. Ssenyange
-----------------------------------------------------------

From Bukedde:

‘Federo egumaaza Abaganda bajja kugizira’

Bya Angel Lubowa

MMENGO n'abantu ab'enjawulo bawakanyizza gavumenti okuwa Buganda Federo ennongoseemu ne bagamba nti terina makulu.

Kino kiddiridde Ssabalungamya w'ebyobufuzi Dr. Crispus Kiyonga okutegeeza nti olukiiko lwa baminisita lwakkirizza okuwa Buganda n'ebitundu ebirala Federo erongooseddwamu ekugira abanaagifuna okusolooza emisolo okuggyako okukola ku by'obulamu, enguudo n'amasomero.

Kyokka minisita avunaanyizibwa ku byamawulire ,abavubuuka n'ensonga z'olukiiko lw'e Mmengo Mw. Peter Mayiga yategeezezza eggulo nti Federo bwetabaamu ssente tebeera na makulu.
Yagambye balinze bbaluwa ntongole ebategeeza ebyasaliddwawo olukiiko lwa baminisita balyoke bakole ssemateeka Mmengo kweneetambuliza Federo nti era ne bwe babagaana okusolooza omusolo balina okuweebwa omutemwa gwe baneeyambisa okutuukiriza emirimu.
Omubaka wa Makindye West mu palamenti, Mw. Nsubuga Nsambu yavudde mu mbeera n'agamba nti yeewuunya okulaba nga gavumenti eyagala kutimba Mmengo bbula nti egiwadde Federo ate nga mukulaba kwe ebyo byoya bya nswa.
Yagambye nti Federo etaliiko kukung'aanya musolo efaanananga n'omuntu okukuwa ekibanja ekijjudde akambugu ate n'akugaana okusaba enkumbi n'ayongerako nti kirabika Muvumenti Federo agiwesaayo bukyayi.
Mubaka munne Ken Lukyamuzi (Lubaga South) yagambye nti kirabika Muvumenti etndise okwekkiriranya olw'okuba eyagala ekisanka eky'okusatu nti kubanga yali yakalamira dda, kyokka n'alabula nti bwe batakkiriza kukung'aanya misolo Abaganda eyo Federo bajja kugizira.
Ssentebe wa Disitulikiti y'e Luweero Haji Abdul Nadduli naye yagambye nti Buganda okugiwa Federo ennongooseemu aleseeyo asinga nti kubanga ebeera ejja kugiremerera.
Nadduli yasabye pulezidenti Museveni okuwa Abagnda n'ebitundu ebirala Federo entuufu nti bwe gutaba gutyo mwetegefu okutemya ku bantu abalabule nti Federo ya Dr. Kiyonga ya mpewo.


Published on: Sunday, 24th August, 2003

Email this article to a friend.






© Copyright The New Vision, 2000-2002. All rights reserved.





_________________________________________________________________
Add photos to your messages with MSN 8. Get 2 months FREE*. http://join.msn.com/?page=features/featuredemail




--------------------------------------------
This service is hosted on the Infocom network
http://www.infocom.co.ug

Reply via email to