I strongly support this idea, albeit near late as it stands. Buganda should have nationalised the issue of federo, yanking it away from the State House in the first place.
Anyhow that the idea has been floated let us see where it goes. BUT, lets us be ware lest the "Sad Term" is derailed into oblivion. The third term issue far out weighs the federo one.
 
Bwambuga. 

Mitayo Potosi <[EMAIL PROTECTED]> wrote:

If you carefully read these articles you find that it is all pure sense.

Let us have a conference of Uganda federalists. Instead of talking to only Bunyoro and Toro others have to be brought in i.e. Acholis, Iteso, Kigezi, West Nile etc.... The 'federo' project rather than allowing it to be characterized as a 'Baganda' thing has to be vigorously promoted for what it is: a Ugandan project.

Our people are crying out for leadership instead of the thieves whose stomachs are bulging everyday while for our people it is the feet that are bulging.

Note that there is an urgent appeal to those in the diaspora!! 

(Bazimba embuto bo abantu nga bazimba bigere!!  Webale Musamize okututusako amawulire gano).

============================================================

From :  musamize ssemakula <[EMAIL PROTECTED]>
Reply-To :  [EMAIL PROTECTED]
Sent :  September 20, 2004 4:20:33 PM
To :  unet <[EMAIL PROTECTED]>
Subject :  [Ugnet] Byaama Bya Buganda Vol 1 #3
Go to previous message | Go to next message | Delete | Inbox

Byaama bya Buganda

Ensulo y’amagezi ku bya Buganda                                                                              Vol. 1 No. 3, Sebutemba 7,  2004

EBIRI MUNDA

Abaganda basanyukidde Mmengo okuva mu kusabiriza Federo

Mmengo tenafuuna nkola nambulukufu kwetambuliza mirimu

Pulofeesa Ssemakula takyeesiga Museveni kumukuuma

Ekirowoozo: Buganda esobola “okuwamba” Federo nga tekubye mundu

Abaganda basanyukidde Mmengo okuva mu kusabiriza Federo

Mukono (Kyaggwe), Mengo (Kyadondo), ne Boston (America)

Abaganda bangi, nga mwemuli n’Abataka abawera, basanyukidde nnyo ekya Mmengo okusalawo n’eva mu kuteseganya ne Yoweri Museveni ku bya Federo. Ensonga eyabadde esinga okuweebwa abo betwatukiridde yabadde nti, ne Mengo byebadde esaba byenyini Abaganda bibatwaala mu buwambe. Ku luno twayogeddeko n’abe Mukono, mu Kyaggwe, ku lwa Sebutemba 3. Twasoose kwogera ne Onyango eyatutegezezza nti Mujapadoola n’alyooka agamba nti, “Nze ndowooza abe Mengo naffe abatali Baganda batukola bubi bwebakiriziganya ne Museveni ku Federo emboofu. Ffe Abaganda tunabaddawa senga obwaavu bunabatuusa okugamba nti buli atali Muganda yeyabubaletera? Nze mukulaba kwange, babadde balowoleeza kumpi. Berabidde nti Museveni muntu era ajja kuvaawo ate nga Abaganda ggwanga era bazaala?”.  Nnamukadde Ssebuyira eyabadde ava okukyaalako e Katosi yasanyukidde nnyo Katikkiro ne John Katende byebayogedde mu Lukii ko. “Ddaaki abe Mmengo batandise okugondera Ssabasajja, eyatukakasa nti Federo entuufu, yeeyo, ekomyaawo Obuganda ba Jajja ffe bwebatulekera. Wabula si Federo enyweeza Bidandi Ssali ne Museveni byebatuleetera. Kati vva wano ogende okutukira ddala e Katosi oba e Nazigo, ebyaalo bijjudde Abanankole n’Abanarwanda Museveni baleese wano jjo lya balamu, kati bebafuga Abaganda. Ate nga mu Ankole ne Bunyoro Abaganda bagoba bagobe? Kirungi nnyo Ssemwogerere ne Katende obutateeka  Mutebi mu byafaayo nga Kabaka eyagabula Buganda eri Abanankole.”

Mu Bulange yo agavaayo simangu nnyo kutegeera. Enseke zaffe e Mmengo zitutegeeza nti waliwo bangi abasanyuse okulaba nti, n’abatugamba bulijjo nti Museveni mukwaano nnyo gwa Baganda, alaze nti ddala tebamutegeera butegeezi. Naye ate waliwo abalala, naddala abo abaganyulwa ennyo mu nkola eriwo e kati Mengo, abawotokerevu era nga bakyanyigiriza nti, “Ssebo, kano akakisa tetuusaana kukasubwa. Tutwaale, konna omusajja kaatuwa”. Nga ebyo bikyaali awo,  enseke zaffe mu NRM zitutegeeza  nti Museveni yalagidde dda Amelia Kyambadde, Richard Muhinda, ne Naava Nnabagesera okukozesa ku ssente okukomyaawo Mengo mu kuteesa. Wabula tetumanyi oba ensimbi zino zitandise okuwa ba “Tudeeyo tuteese” amaanyi e Mengo.

Okumanya Abaganda abali ku mawanga bwebalowooza, twakubidde omuzaana wa Kabaka, Mbatudde owe Boston, eyabadde ku mikolo mu Seattle, America. Yayimye ku “buli wooli nkufuna” eya “roaming” natugamba nti, Abaganda bangi mu America babadde n’endoowoza nti abe Mengo Museveni yabagula dda. Era kyabewunyisizza n’okubasanyusa ennyo okulaba nga John Katende ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti “eby’okuteesa tubivuddemu”. Naye Mbatudde yalabudde nti, okuva ku bulimba bwa Museveni bweyakamala okwelabirako  mu Seattle, atya nti, ono asobola okuba katemba kuzanyira ku bwongo bwa Baganda. Yabitadde mu Luzungu nti, “The jury is still out. Remember that the people involved were buddies at Dar es Salaam University. So, you can’t rule out games.”  Ekivvunurwa nti, “Amagi teganaalulwa. Jjukira nti abali mu bintu bino ennyo baziluunda bonna mu Yunivasite ye Dar es Salaam. Kale eky’ obuzannyo tosobola kumala gakigaaana”.

Mmengo tenafuuna nkola nambulukufu kwetambuliza mirimu

Kampala (Kyadondo)

Ebivudde mu kubuliriza kwa kakensa waffe okumaaze sabiiti 9 bilaga nti Mmengo talina nkola nambulukufu kwetambuliza mirimu. Mu kubuliriza kuno kakensa waffe, yakyaalira Bulange nayogerako n’Abaganda abaali

bbaze okukola ku nsonga zaabwe era n’abakozi mu Gavumenti ye Ssabasajja. Ate era yeebuza ne ku nseke zaffe mu Bulange era n’okukozesa bwino eyafunibwa okuva ku NRM Secretariat.

Essira okubuliriza kwaalissa ku nnyingo ssatu. Esooka, y’enkola omuyitibwa okufuna omulimu oba obuvunanyizibwa e Mmengo. Eyokubiri, y’enkola y’okuzuula era n’okukangavula abo abalagajalira omulimu gwaabwe. N’eyokusatu ye ya “accountability”, ekitegeeza nti buli muntu asalawo ku mirimu ne sente bya Kabaka atekwa okunyonyolanga, biki byeyasalawo, lwaki yasalawo mu ngeri gyeyasalwo, era ne sente ezakozesebbwa wezaalaga.

Ku by’okufuna emirimu e Mmengo, tewali nkola nambulukufu. Wabula twakizudde nti waliwo abemulugunyaako eddako era Katikkiro nalangilira nti abagala emirimu bajje okwewandiisa ku Bulange. Naye tewaalabisewo bujulizi nti bekikwatako balina kyebakolawo eky’enkalakalira. Okutwaalira awamu, Mengo talanga mirimu. Wabula twakizudde nti CBS oluusi yo elanga, olwovuganya okwamaanyi okuliwo ne zi radio endala.

Mu buwanga bwa Buganda Sabasajja tanyagibwa Muganda. Era waliwo Omugave omu eyabulankanya ebya Ssekabaka Muteesa emyaaka nga 45 egiyise naye nakati akyajjukirwa nnyo. Wabula waliwo obujulizi e Mmengo nti okubba ebintu bya Kabaka Mutebi gufuuse musono. Ebyokulabirako. Emyaaka mitono emabega waliwo mutabani w’omukungu omu eyabba sente okuva mu CBS, nga zigenda mu Kibiiina ky’Oluganda. Naye, kitaawe (omukungu) bweyabiyingiramu, nebasalawo nti liffuke bbanja, basalenga ku musaala ggwe buli mweezi. Waliwo n’omukyaala we Nakawa  eyalya bukadde kumpi 100, ez’okutandika Royal Technical Institute, naye ebigambo “bwebyayogerwaamu”, nekifuuka kyaama. Ate newabaawo ne Minista wa Ssabasajja mulamba eyakwaatibwa lubona mu Lubiri nga anyaga ebintu bya Beene.  Wewaawo yagobwa ku bwa minisita, naye omusajja ono ne leero akyayiingizibwa mu mirimu gya Sabasajja era mu Bulange bakyamwogerwa ako nga  “Ow’ekitiibwa”.

Ku nsonga ya “accountability” kakensa waffe yakakasibbwa abakozi 5 mu Bulange  nti waliwo Abakungu abatwaala Satifikeeti za Buganda okuva ku Muwanika okuzitunda ku mikolo naye ssente ne bazirya. Ate waliwo n’oluvuvuumo mu Bulange nti waliwo abakungu abatono abatabuuzibwa bya “accountability” naye ate nga, olw’okuba nti bamaanyi nnyo e Mmengo, tewali kintu kya ssente nkumu kikolebwa nga tebakiyingiddeemu.  

Alipoota ya Kakensa egamba nti ebintu ebinayaamba Katikkiro, n’abakungu be abafuba ennyo okutambuza emirimu gya Ssabasajja, okwanganga abo abalemesa mwemuli bino :

1.        Okusala ennyo ku baminista ate ejjewo ne baminista abakola nga banakyeewa. Kiri mu musana nti ssenga Mmengo ebeera ne baminisita nga 8 abalina obusobozi, nga basasulwa omusaala mulungi, senga “accountability” nyangu.  Enkola ya Museveni ey’omujjuzo gwa ba Minisita, Mmengo gye yakoppa, ttekiriza “accountability”.

2.        Okuteekawo okuvuganya ku mirimu mu Gavumenti ya Sabasajja.  Kubanga, mu mateeka ga Museveni ebya Kabaka bya buwangwa emirimu girangibwenga n’okusabibwa okuyita mu bakulu b’ebika. Abaganda abatalina bika, nga Abaluuli, bayinza okuyita bakulu baabwe abe nnono.

3.        Okukozesa tekinologiya okuteeka emirimu gyaayo ku mutindo. Tewaali kya kwekwaasa lwaaki, leero, Mmengo telina kompyuuta emu ennene okuli amanya n’emisoso gya buli muntu akola mu Gavumenti ya Kabaka.

4.        Okugumikiriiza, okusonyiwa, n’okusisitira ababbi n’abakenuzi (the corrupt) birina okukoma mu mirimu gya Ssabasajja. Enkola ya Museveni eno okukirizibwa e Mengo kyekireteera abantu bangi, ne Museveni yennyini, okugamba  nti, “Abali e Mmengo bonna babbi bubbi”. Omubbi oba omukenuzi yenna alina okutwalibwa ku poliisi, okugobwa, era n’okuloopebwa eri Abakulu b’ebika.

Alipoota emaliriza nga etangaaza nti Abaganda abali mu Buganda awamu ne ku mawanga bandiwagidde nnyo Mmengo ssenga ebya ssente, okugaba emirimu, obuyinza, n’okukangavula abazigamya emirimu gya Sabasajja bitekeebwa mu musana. Okugamba nti Mmengo atya balabe baffe kumanya, byaama kwekwaasa.

Pulofeesa Ssemakula takyeesiga Museveni kumukuuma

Kampala (Kyadondo)

Enaku ntono emabega, musajja wa Museveni, Semakula Kiwanuka, yagenda ku offiisi y’olupapula lwa Monitor naloopa nti waliwo Abaganda abamulinya akagere, nga bagala kumutta kubanda tawagira Federo gyebetaaga.  Nga bw’afeesafeesa, Ssemakula yalaajana nga bwalwaniridde ennyo ebya Buganda. Era nti yalawana nnyo okukirizisa Museveni awe Mengo ssente z’okumaliriza Tweekobe.

Ku lw’omukaaga twagenzeeko mu Kiyembe (waggulu wa paaka enkadde mu Kampala), tuwulire ebirowoozo bya Baganda ku nsonga eno. Omukyaala omu atuunda waya za masanyalaze yatugambye nti, “Tombulira, oyo ffe ab’Olugave omusajja yatuswaaza dda eri Obuganda. Takiririza mu bintu bya Buganda, era ebyo byalogotana ayagala kwelunjiya eri mukamaawe.” Ate Kiyingi eyazze okugula waya ye nagamba nti, “Okumanya ensi egudde eddalu, oba nga Ssemakula yatufunira ssente za Tweekobe, lwaaki tegwanga?” Nayongerako nti, “N’owolugave omulala ali a Mengo era bwatyo si bweyalimba Kabaka ne Katikkiro ku nsonga za Butikkiro?”.  Lwanyaaga akolera ku Platinum House ye yawadde Pulofeesa  magezi nti, “Mukifo ky’okuloopa mu Monitor, agende aloope ewa mukama we. Mpozzi nga Pulofeesa takyesiga Museveni kumukuuma.”

Ekirowoozo: Buganda esobola “okuwamba” Federo nga tekubye mundu

Twegatta ku Baganda abalala, abali wanno ku butaka ne ku mawanga, okusanyukira ennyo Mmengo okulekeeraawo oby’okwegayirira Museveni ku Federo. Era tuyozayoza nnyo Katikkiro Joseph Ssemwogerere ne Ssabawolereza John Katende olw’ebigambo eby’obuvumu byebakozesa mu Lukiiko nga bategeeza Obuganda nti “sserwajja okwoota” okuteesa naye kumala biseera. Wabula tusinga okwebaza Abaganda ababulijjo, naddala abali mu Bazukulu,  Zambogo, Bana ba Kintu, Ggwangamujje, CBS Fans Club, Wakka Awunya, n’abalala, abalwaanye ennyo okumatiza Mmengo nti ebyafaayo birina kulaga nti Kabaka Mutebi “yatebuka abalabe” so si “yagabula Obuganda eri abalabe”.

Kati ffe tuteesa nti abo abababadde bagaamba nti Museveni mukwaano gwa Buganda era bye twagala naye by’ayagala basaana balekere tukome okuswaala. Buganda essana etwaale omukisa guno etandiike okwezimbila Federo eteli nsabe busabi, ate nga si ya mmundu.  Buganda ne Mmengo, tulwaane kutekaawo enkola ennungamu mu mirimu gya Sabasajja, eby’obufuzi bya Buganda eby’omulembe, okusomesa Abaganda nti tuli mu buwambe, n’okukunga Abaganda okweganda mu buli kyebakola.

Ssenga Mmengo Federo ya Museveni egivaako netandiika okulaga Abaganda obukulembeze obwanamaddala ku bintu nga bino wamanga, tunaaba tutandise “okuwamba Federo”, ne Buganda ba Jajja ffe gyebatulekera awatali mmundu.

1.        Mmengo eyanguye okusaawo enkola ennambulukufu (transparent) okutabumbulira emirimu gya Sabasajja, nga eraaga engaba y’emirimu, enkangavula y’abazingamya emirimu, ensasaanya ya ssente, ne “accountability”.

2.        Mmengo ayanguye okuwandiisa Abaganda abali ku butaka ne ku mawanga ku kompyuuta, kyanguye emirimu gya Sabasajja emirala, nga mwotadde n’okulonda Olukiiko Buganda lweyetaaga (laba 5 wansi).

3.        Mmengo ayanguye mangu okusaawo ekitongole kya Buganda Employment Agency, ekyesigama ku bika bya Baganda okunonyeza,  okusunsula, n’okufunira Abaganda emirimu era n’okuyamba abakozesa abanoonya abakozi abalungi nga Baganda.

4.        Mmengo eyanguye okusaawo ekitongole ekikwaataganya Gavumenti ya Ssabasajja n’Abaganda abali ku mawanga okuwanyisiganya ebirowoozo, amagezi, n’okubukugu ku mirimu, tekinologiya n’ebyensimbi.

5.        Katikkiro asabe Kabaka n’Abataaka bakiriize Buganda efune Olukiiko lumu olw’omulembe era olwa demokulaasi aggumiza obuwangwa bwaffe. Tuteesa nti Buganda yetaaga Olukiiko lwa bantu 76.  Buli kika nga kisemba abakazi 2  n’abasajja 2 okuvuganya ku bifo by’ababaka 40 ab’ebika; ate buli ssaza lya Buganda neliweereza abantu 2  (okuweza 36) abalondebwa obuterevu, nga ababaka b’amasaza.

6.        Mmengo ekyuuse entegeka za Kabaka ne Nnabagereka, essira ly’emirimu gyaabwe libeere ku kuganda n’okubudabuda Abaganda, so si ku kusanyusa Banamawanga, entasiima.

Ebyo wagulu bya kulabirako era birina okugendeera awaamu n’emirimu egy’ettendo nga BUCADEF ne CBS Mmengo gy’ekooze. Ekikulu kwekukyuusa omulamwa netuggujja ku “kwegayirira batuwe Federo” netugussa ku “kweganda, n’okudda ku buwangwa bwaffe, tuziimbe Buganda etetaagisa Banamawanga kutununula nate”.

Ssabasajja Awangaale!

Omukungaanya wa mmwe.

(buli ategedde tegeeza munnowo)




"Americans are born in a half-savage country"   Ezra Pound, poet.

Mitayo Potosi 



Enjoy 25MB of inbox storage and 10MB per file attachment with MSN Premium. Join now and get the first two months FREE* _______________________________________________
Ugandanet mailing list
[EMAIL PROTECTED]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/


Do you Yahoo!?
Y! Messenger - Communicate in real time. Download now.
_______________________________________________
Ugandanet mailing list
[EMAIL PROTECTED]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

Reply via email to