Summary:
Parliamentarians have asked the government to educate Ugandans from other parts of Uganda about the advantages of federalism, so that Buganda does not leave them behind.
Basabye okusomesa federo
Bya Annet Nakate
ABABAKA ba palamenti basabye gavumenti etandike okusomesa abantu b'ebitundu ebirala mu ggwanga ku bulungi bw'enfuga ya Federo, Buganda ereme kubayitako.
Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku mateeka n'ensonga za palamenti bwe baabadde basisinkanye minisita w'eby'amateeka Khiddu Makubuya ku Mmande.
Mehangye yagambye nti engeri Buganda gye yakkiriziganyizza ne gavumenti ku nfuga eno, Buganda eyinza okusukkuluma ku bitundu ebirala, kwe kusaba gavumenti esseewo enkola y'okusomesa federo mu bitundu by'eggwanga ebirala.
Yawagiddwa Moses Kizide Bugabula North), eyagambye nti wadde Busoga yali ekkiriziganyizza ku nfuga ya caata, naye nayo yandyagadde okuweebwa Federo.
Published on: Tuesday, 22nd February, 2005
====
Summary:
The ex-Katikkiro of Buganda, Mr. Mayanja Nkangi, and other local leaders have endorsed the just agreed to arrangement on governance between Buganda and the central government. Mr. Nkangi stressed that this only a beginning, and that much remains to be resolved. However, members of Ggwanga Mujje appear to be unsatisfied with the agreement.
Nkangi n�ababaka basiimye
Bya Robert Masengere
EYALIKO Katikkiro wa Buganda Jeoash Mayanja Nkangi agambye nti ebituukiddwako mu nteeseganya wakati wa gavumenti ne Mmengo ntandikwa nnungi, kyokka n'ajuliza nti ago gakyali mabaga.
Ye omukiise mu lukiiko luno ng'era Katikkiro wa Kamuswaga e Kooki, Ananiya Ssekyanzi yagambye nti ebituukiddwako buwanguzi obwolekedde okutuusa Buganda ku byengera.
Omukiise Paul Ssonko (Ssembabule) yagambye nti ebivuddemu bireeta akamwenyumwenyu nga Abaganda balindiridde nseko singa bafuna ne federoe y'ekimmemmette. Ow'essaza Katambala, Haji Kaddunnabbi Lubega naye yamuwagidde ate omukiise Stanley Kijjambu (Mityana) n'agamba nti omusingi gwa federo guwedde okusima.
Ng'olukiiko lugenda mumaaso, abamu ku Baganda abeeyise ab'ekibiina kya "Ggwangamujje" beekapise ebipande okwabadde obubaka obw'enjawulo mu maaso ga wankaaki ayingira mu Bulange, ng'obumu ku bubaka buwakanya ebiri mu federo eno.
Published on: Tuesday, 22nd February, 2005
Do you Yahoo!?
Yahoo! Search presents - Jib Jab's 'Second Term'
_______________________________________________ Ugandanet mailing list [email protected] http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet % UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

