Reply-To: [EMAIL PROTECTED]
To: [EMAIL PROTECTED]
Subject: [UNAANET] Resolutions of Buganda's Lukiiko on the Balaalo's
Attempts to Steal Our Land
Date: Fri, 6 Jul 2007 14:31:56 -0700 (PDT)
EKITEESO KY¢OLUKIIKIKO LWA BUGANDA NO. 3/07
OLUKIIKO LWA BUGANDA OLUKULU OLUTUDDE OLWALEERO NGA 02ND JULY 2007 WANO KU
MBUGA YA BUGANDA MU BULANGE E MMENGO,
I. OLUVANYUMA LW¢OKUFUNA ALIPOOTA EZIVUDDE MU MASAZA GA BUGANDA
KU BANTU ABAALETEBWA MU BUGANDA ABATANNATEGEEREKEKA ABAVA MU BITUNDU
EBIRALA,
II. OLUKIIKO LUKIMANYI BULUNGI NTI ETTAKA LYA BUGANDA LINGI
ERIKYALI MU BUWAMBE MU MIKONO GYA GAVUMENTI YA UGANDA NGA: MAILO 9000,
EMBUGA Z¢AMASAZA N¢AMAGOMBOLOLA NE MAILO 1500 EZ¢EBIBIRA N¢ENTOBAZZI
BY¢EKYALEMEDDE KATI EMYAKA 14 BUKYA BWA KABAKA BWA BUGANDA BUZZIBWAWO.
III. ATE ERA N¢OKUSINZIRA KU NTEEKATEEKA YA GAVUMENTI YA UGANDA
EY¢OKUGGYAWO ENKOLA YA MAILO, N¢OKUKYUSA SSEMATEKA OKUGGYAWO OBWANNANYINI
BW¢ETAKKA OKUBUZZA MU GAVUMENTI, OLUKIIKO LWONGEERA OKULAGA OBWENNYAMIVU
NOBWERALIKIRIVU. N¢OLWENSONGA EZO WAGULU;
OLUKIIKO LUYISIZZA EBITEESO BINO:
OKUWAKANYA ENTEEKATEEKA YA GAVUMENTI YA UGANDA OKULEETA N¢OKUSENZA ABALAALO
AWAMU NENTE ZAABWE KU TTAKA LYA BUGANDA, MBU, NGA BAGOBEDDWA MU BITUNDU BYA
UGANDA EBIRALA.
OKUWAGIRA ABALAALO BANO AWAMU NENTE ZAABWE OKUSIGALA KU TTAKA LYABWE GYE
BALI WABULA SSI KUBASENZA MU BUGANDA.
OKUDDAMU OKUKOOWOOLA GAVUMENTI YA UGANDA OKUZZA AMANGU EBINTU BYA BUGANDA
BYONNA EBYAWAMBIBWA AMANGU DDALA ATE MU BBANGA EGGERE WAMU N¢OBUTADDAMU
KUKOLA KINTU KYONNA KU BINTU BYONNA EBIRI MU KUTEESEBWAKO OMULI OKUBIGABA,
OKUBITUNDA OBA OKUKOLEERAKO EKINTU KYONA OKUTUUSA NG¢ENTEESEGANYA WAKATI
W¢OBWAKABAKA BWA BUGANDA NE GAVUMENTI YA UGANDA ZIWEDDE.
OKULABULA ABALAALO AWAMU NENTE ZAABWE OBUTALINNYA KU TTAKA LYA BUGANDA MU
NGERI GYE BABALIMBAMU OKUJJA.
OKUSABA GAVUMENTI YA UGANDA EYANGUYEEKO OKUBONEREZA ABO ABAGOBAGANYA
ABALAALO KU TTAKA LYABWE. NGA TULWANIRIRA OMUTIMA GW¢EGGWANGA LYAFFE
N¢OBUMU, ABALAALO AWAMU NENTE ZAABWE ABO BANDIWEEREDDWA OBUKUUMI OBUMALA
OKWEWALA OBULABE OBUBATUUSIDDWAKO MU DISITULIKITI Y¢E BULIISA OKUTUUSA
NG¢AMATEEKA GAGOBEREDDWA NE KKOOTI ESAZEEWO KU KUBEERA KWABWE MU KITUNDU
EKYO.
GAVUMENTI BW¢EBA EYAGALA OKUYAMBA ABALAALO AWAMU NENTE ZAABWE ABABUNDABUNDA
BATWALIBWE MU BITUNDU BYA UGANDA BYONNA SO SSI MU BUGANDA WOKKA OLUVANNYUMA
LW¢OKWOGERAGANYA N¢ABANTU B¢OMU BITUNDU EBYO GYE BATWALIBWA N¢OKUBERAWO
OKUKIRIZIGANNYA OKWEWALA OBUZIBU OBUYINZA OKUBALUKAWO.
OLUKIIKO LUKOWOOLA OBUGANDA BWONNA YONNA GYE BULI MU UGANDA N¢EBWERU WAAYO
OKWESIBA BBIRI OKULWANIRIRA N¢OKUKUUMA ETTAKA LYA BUGANDA.
OLUKIIKO LUTEGEEZA ENSI YONNA NTI ETTAKA LYA BUGANDA ERYA MAILO 9000
N¢EDDALA LYONNA ERIRI MU KUBBIBWA KATI; NTI EKISEERA KIJJA KUTUUKA NE
LINUNULIBWA MU NGERI YONNA ESOBOKA.
MU BYONNA, OLUKIIKO LUGAANYI ENTEGEKA YA GAVUMENTI OKULEETA ABAALARO E
KYANKWANZI MU DISTRICT YE KIBOGA.
OLUKIIKO LULAGIDDE GAVUMENTI YA SSAABASAJJA OKUTUNULA MU NGERI BUGANDA
GY¢ESOBOLA OKUTWALA ENSONGA ZAAYO EZIGIRUMA MU MBUGA Z¢AMATEEKA NADDALA
EZIKWATA KU TTAKA N¢EBIRALA BYONNA.
OLUKIIKO LULAGIDDE GAVUMENTI YA SSAABASAJJA OKUKOLA KU BITEESO BINO MU
BWANGU OKWEWALA ENTALO ZINNAMUZISA EZIYINZA OKUBALUKAWO.
MEDARD SSEGGONA LUBEGA
MINISITA OMUBEEZI OW¢ENSONGA Z¢OLUKIIKO CABINET N¢AMAWULIRE
____________________________________________________________________________________
Pinpoint customers who are looking for what you sell.
http://searchmarketing.yahoo.com/
_________________________________________________________________
Upgrade to Windows Live Hotmail for free today!
www.newhotmail.ca?icid=WLHMENCA151
_______________________________________________
Ugandanet mailing list
Ugandanet@kym.net
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/
The above comments and data are owned by whoever posted them (including
attachments if any). The List's Host is not responsible for them in any way.
---------------------------------------