People
Why are all morals gone in Buganda? UPC why are you doing this to the land of the Highness? Last week it is jiggers killing left right and center now women killing their husbands for less than a dollar? UPC leave Buganda alone please.
Em
Akubye bba enkumbi n’amutta lwa 1,000/-

mulindwa ne Kizza

Bya Eddie
Ssejjoba,
MASAKA

OBUFUMBO bw'abaagalana Paul Mulindwa ne mukazi we Rosemary Kizza bwasattulukuse omukazi bwe yakutte enkumbi n'agikuba bba ku mutwe n'amuttirawo lwa kumusaba 1000/- anywe mu omwenge.

Bino byabadde Kabonera mu Masaka, omukazi okufumbo Rosemary Kizza bwe yawoleddwa ekibiina ky'abakyala mu kitundu kino 60,000/= azikozese akyole azizzeeyo.

Atwala poliisi mu kibuga Masaka, Mw. Sakwa Wambi antegeezezza nti Kizza yagabanye 60,000/- okuva ku bakyala banne ze batereka awamu ne baziwa munnakibiina buli mwezi, era ku luno omukisa gwakutte Rosemary Kizza ne bazimukwanga.

Kizza ensimbi yazitutte ew'omubazzi gye yaguze amadirisa g'enju yaabwe kubanga baludde nga basula mu kyangaala, kyokka nga kino bba tekyamusanyusizza kubanga yabadde amusabye amuwe ku z'okunywa omwenge.

Yasoose n'amuwaako 1000/-. Mulindwa atunda ebyenda mu katale k'e Kabonera bwe yanywedde 1000/- ne ziggwawo n'ayagala afuuke kasomba kaddira.

Yazzeeyo eka n'asaba mukazi we amwongere sente kyokka omukazi n'agaana kwe kutandika okumukuba.

Omukyala yeetakkuluzza ku bba n'adduka n'oluvannyuma n'atumya enkumbi ye n'agenda ku lubimbi.

Yabadde yakatemawo enkumbi nga ziizo ne zireeta bba eyamugambye nti ku luno yabadde ateekwa okumuwa ensimbi ezaafisseewo oba si ekyo yabadde agenda kumukuba amuleke mu kkubiro.

Kizza yannyonnyodde bba nga bwe yabadde takyalina nsimbi ng'azirekedde mubazzi abaweemu amadirisa kyokka Mulindwa olwo n'aluyita lulago kwe kumuviira mu kikonde kwe yagasse empi.

Oluvannyuma yamuyisizzaako ne kibooko ekyawalirizza omukyala okukunuukiriza enkumbi gye yasangiddwa nayo ku lubimbi n'agikuba bba ku mutwe mu butanwa nga yeetaasa.

Published on: Monday, 2nd December, 2002



MSN 8 helps ELIMINATE E-MAIL VIRUSES. Get 2 months FREE*.

Reply via email to