Mr. Mulindwa,


      Please translate for Adhola.
------------------------------------------------------------------->
Welcome To Bukedde online: Uganda's leading vernacular daily

           Search:
                  Advanced Search in the Archive


Bya Ahmed Kateregga
OLWALEERO Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II , lw’asuubirwa okutuuza Omulangira Apolo Sansa ku bwakamuswaga bw’e Kooki.
Olunaku luno olw’okujjuukirirako nga bwegiweze emyaka 40 bukya Buganda ekwasibwa okwefuga okw’omunda , kati lukuzibwa nga olunaku lwa Bulungibwansi .
Buganda bwe yali tennafuuka ttwale lya Bungereza mu 1893/4 .Abawarabu n’Abazungu beewuunya obwakabaka obwali bulina gavumenti eziringa ez’ewaabwe omuli Katikkiro ,abakungu,abaami ,abataka n’olukiiko.
Mu ndagaano ya 1900, Buganda ekuumibwa (Buganda Protectorate) eyali egattiddwako Ankole, Tooro,Bunyoro ne Busoga , yafeebezebwa okuva ku ddaala ery’ensi n’efuuka emu ku pulovinsi za Uganda wabula nga yasigaza gavumenti yaayo eyali ekulirwa Katikkiro, omuwanika n’omulamuzi ng’erina n’okwerondera ababaka mukaaga ku babaka 89 ab’Olukiiko lw’e Mmengo. Naye okulonda abakungu n’abaami nga bamala kukakasibwa mubaka wa Bungereza.
Okusinziira Polof.Samwiri Karugire, mu 1953 Buganda yayagala okwekutula ku Uganda yeefuge yokka, Ssekabaka Muteesa ll bwe yayagala ensonga zaayo ziggyibwe mu ofiisi y’amatwalwe zizzibwe mu ofiisi ekola ku nkolagana ya Bungereza n’amawanga amalala endagaano za 1893,1894 ne 1900 mwe zaakolebwa kyokka Gavana n’amuwangangusa.
Endagaano ya Buganda eya 1955 yaggya Kabaka mu lwokaano lw’ebyobufuzi n’essaawo Katikkiro alina obuyinza obujjuvu ng’alondebwa Lukiiko era nga n’ababaka abasinga obungi mu Lukiiko bakubwako kalulu.
Omusomesa w’ebyafaayo mu yunivasite e Makerere Mw.Dixon Kamukama agamba nti Buganda mu 1960 yali erangiridde okwefuga okuva nga January 1 1961. Nti kyokka kino ky’agiremerera neddamu okuteeseganya ne gavumenti enkuumi.
Abu Mayanja agamba nti yawakanya nnyo ekirangiriro kino nti kubanga Buganda yali yafuuka dda ekitundu kya Uganda nga teyeetaaga kwesalako.
Konsityusoni y’okwefuga eya 1962 yawa Buganda federo ow’ekimmemmette.
Yagamba nti olukiiko lw’e Mmengo lwali lwakwerondera ababaka 21 ab’okukiikirira Buganda mu Palamenti ya Uganda , Kabaka yaweebwa poliisi , akakiiko akagaba obwami n’emirimu , Kkooti enkulu n’ebirala.
Newankubadde nga Uganda yeefuga nga October 9 1962, kyokka Abangereza baalaba nga kyetaagisa okutuukiriza omukolo gw’okukwasa Buganda okwefuga okw’omunda olw’okuba nti Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa I ye yali yabayita.
Omukolo guno ogwali mu Bulange ,gwakolebwa Omulangira Duke ow’e Kent ne mukyala we abaakiikirira Nnabakyala Elizabeth II ku mikolo gy’ameefuga.
Nga Buganda emaze okukwasibwa okwefuga okw’omunda , Ssekabaka Edward Muteesa II yagamba nti “Bannange okwefuga tukufunye naye agoba essajja...,” abantu be ne baddamu nti “alekamu ezinadda.”
Ku lunaku lw’ameefuga, gavumenti ya Kabaka yali ekulirwa Katikkiro Michael Kintu ng’erina baminisita mukaaga omwali omuwanika Masembe Kabali, ow’ebyamateeka Fred Mpanga era nga ye Ssaabawabuzi , ow’ebyemirimu ,enguudo entambula n’empuliziganya ,owebyenjigiriza Abu Mayanja oweebyobulamu n’oluvannyuma owa gavumenti ezeebitundu munnamawulire A.D. Lubowa.
Enkola ya disentulayizeesoni nayo yali yatandika dda. Okusinziira ku byasembebwa akakiiko ka Wallis mu 1952 , ebyenjigira bya pulayimala n’obulwaliro obutono byali bya kukwasibwa disitulikiti kyokka mu Buganda bikwasibwe amasaza era kino kyatandika mu ndagaano ya 1955. Abaami ab’amasaza baali basajja bagundiivu nga basabuukulula emmotoka kapyata, basula mu nnyumba ez’ebitiibwa era nga balamulira mu mbuga ezibasaanidde.
Naye ekibi amasaza gaagabanwanga amadiini ! Ku 20, Abasiraa-mu baalyangako Butambala yekka ng’agasigadde gagabanibwa Abapolosi-tante n’Abakatol-iki ! Naye oluvannyuma lwa 1955 Abakatoliki ne bagabira Abasiraamu essaza lya Lumaama e Kabula kyokka nga balyamu eggomblola emu.
Abaami ab’emiruka baalina ebitaawuluzi mwe baatawululiranga enkaayana mu miruka gyabwe nga wansi waabwe we waali abaami abatongole oba abaami b’ebyalo.
Wabula bano bonna nga tebakubwako kalulu naye nga balondebwa akakiiko ka Kabaka akagaba obwami akaakulirwanga Omulangira Haji Badru Kakungulu.
Omugenzi Karugire agamba nti abaami ba Kabaka abaali ab’ebitiibwa bwe baasikirwa aba Obote, Amin nga n’abamu Banyarwanda n’Abarundi abaali bazze okupakasa , nti abantu eby’okukola bulungi bwansi ng’okulima enguudo ne babivaako.
Newankubadde ebiddawo tebyenkanankana , naye Buganda esobola okukoppa ebirungi ebiri mu nfuga y’obukiiko bwa LC naddala okulonda abaami olw’ebisaanyizo so ssi olw’amadiini, era nga bakubwako akalulu, ekisobola okwongera okuganjisa obwakabaka mu bantu ba bulijjo naddala abavubuka.


Published on: Tuesday, 8th October, 2002

Email this article to a friend.






© Copyright The New Vision, 2000-2002. All rights reserved.





_________________________________________________________________
Add photos to your messages with MSN 8. Get 2 months FREE*. http://join.msn.com/?page=features/featuredemail




--------------------------------------------
This service is hosted on the Infocom network
http://www.infocom.co.ug

Reply via email to