Omuzungu atemedde omulanga mu loogi
OMUSIRIKALE Omumerika akolera mu kitongole kya UN yatemedde omulanga mu loogi nga kigambibwa nti malaaya yamunyazeeko ssente ze zonna ze yabadde nazo.

Kigambibwa nti Omuzungu ono y'omu ku abo abaaleetebwa okukuuma eddembe mu Congo.

Yabadde akyaddeko mu kibuga Mbarara wiiki ewedde gye yasanze ekiwala ekisagala nga ennyana n'akitwala mu loogi okwesanyusaamu era ne bateesa okusula nga banyumya akaboozi.

Kyokka Omuzungu olwakooye kwe kugwa eri n'afuluuta era wano malaaya we yamulabirizza n'amunyagako ssente ze yabadde nazo n'adduka. Omuzungu yagenze okudda engulu nga malaaya tamulabako nga ne ssente ze tazikubako kya mulubaale n'atandika okukaaba kyokka ng'abantu basekerera musekerere n'okumutegeeza nti, ''Eno ye Uganda''.


            The Mulindwas Communication Group
"With Yoweri Museveni, Uganda is in anarchy"
            Groupe de communication Mulindwas
"avec Yoweri Museveni, l'Ouganda est dans l'anarchie"

Reply via email to